anny 19; Bag 5:17
bnny 12
cnny 20
dnny 25
enny 15
fnny 17
g nny 23, 25

Romans 7:15-23

15 aKubanga kye nkola sikimanyi. Kye njagala si kye nkola, naye kye nkyawa kye nkola. 16 bNewaakubadde nga nkola kye mmanyi nga kikyamu, nzikiriza ng’amateeka malungi. 17 cNoolwekyo si nze nkola ebintu ebyo ebibi, wabula ekibi ekiri mu nze. 18 dMmanyi nga mu nze, temuli kalungi n’akamu. Ne bwe njagala okukola ekirungi, tewali kirungi kye nkola. 19 eEkirungi kye njagala okukola si kye nkola, naye ekibi kye saagala kye nkola. 20 fNaye obanga kye saagala kye nkola, si nze mba nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze.

21 gNoolwekyo nzudde mu mateeka nga bwe njagala okukola ebirungi, ekibi kimbeera kumpi. 22 hMu nze mu muntu ow’omunda njagala nnyo okugondera amateeka ga Katonda. 23 iNaye mu mubiri gwange gwonna, ndaba amateeka ag’enjawulo nga gawakana n’etteeka lya Katonda amagezi gange ge limanyi. Ekyo kinfuula omusibe w’amateeka ag’ekibi, ekikolera mu mubiri gwange.
Copyright information for LugEEEE